Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 105 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Nambooze ayongedde ggiya mu bbago ly’etteeka ly’omwenge

October 6, 2016 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti akiikirira Municipali y’e Mukono, Betty Nambooze olwaleero asabye mu butongole okugira nga awummulamu emirimu gya Palamenti abe nga agenda okweteekateeka okuleeta ebbanga ly’etteeka erirunngamya abanywi b’omwenge ekiyitibwa Alcoholic Drinks Control Act 2016.

Ebbago lino ligenda kwongera okulungamya abeekatankira omwenge nga bongera okumyumyura ku mateeka.

Nambooze agamba nti mu tteeka lino bagenda kufuba okulaba nga n’abaana abali wansi w’emyaka 18 nga banywa omwenge bakangavvulwa. Mu bbago lino era bagenda kugunjawo n’obukiiko bw’ebyalo okufuba okulaba nga buteeka mu nkola enteekateeka y’okuggulawo ebirabo essaawa kkumi n’emu ez’akawungeezi ate nga biggalwawo ku ssaawa musanvu ez’ekiro, nti era anaazimula ekiragiro kino agenda kusasula engassi oba akulungule mu nkomyo omwaka mulamba.