Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 473 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Yuganda ekoze amaliri ga 00 ne Bukinafaso e Nambole .

March 29, 2016 · Mubiru Ali

 

Nambole abooze
Nambole abooze

Wakati mu nammungi w’abawagizi abeekuluumuludde okuva ebule n’ebweya okulaba tiimu ya Yuganda  ng’ettunka n’eya Bukinafaso mu kusunsulamu aneetaba mu mpaka z’ekikopo ekiwakanirwa amawanga ga Africa ,  empaka eziriyo mu 2017 . Yuganda erwanye nga bwekisoboka okuwangula Bukinafaso e Nambole naye ne kigaana okukkakkana nga bagudde maliri nga tewali alabye katimba ka munne .

Yuganda efunye emikisa egiwedde naddala mu budde obusembayo nga n’ogumu  ku gyo gubadde gwa Oloya gw’akubye ebbali mu ddakiika ye 90 .

Kino kitegeeza nti Yuganda egenze ku bubonero musanvu (7) ate ne Bukinafaso musanvu, Yuganda eddamu kukyalira Botswana .

Omupiira gwetabiddwako omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi, Eyaliko Ssaabaminisita wa Yuganda ate era eyavuganya ku bwa Pulezidenti mu kalulu ka 2016 akaakaggwa John Patrick Mbabazi , Minisita Ronald Kibuule n’abalala .

Nambole 2
Police eyaza abawagizi buli ayingira .