Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 293 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Ssematimba asigazza ekifo kye mu Palamenti

September 18, 2017 · Mubiru Ali

Kkooti ejulirwamu mu Kampala enkya ya leero asazeewo nti Peter Ssematimba mubaka mu Palamenti owa Busiro ey’amaserengeta era yalondebwa mu butuufu oluvannyuma lwa kkooti eno okusazaamu ekyaqli kyasalibwawo omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe eyali yalagira bateeketeeke okulonda okuggya olw’okuba nti empapula za Ssematimba ez’obuyigirize zaali zaali za munguuba.

Mu nsala eno esomeddwa amyuka omuwandiisi wa kkooti ejulirwamu Deo Nzeimana, abalamuzi abasatu abatuula ku kkooti eno bagamba nti omulamuzi mu kkooti enkulu yali mukyamu okusazaamu okulondebwa kwa Ssematimba.

Abalamuzi bagambye nti obujulizi okusinziira ku biwandiiko bya Ssematimba, bulagira ddala nti yasoma ku Ttendekero lya Pacific Course Technical Institute ย mu America.

Abalamuzi okuli Catherine Bamugemereire, Chebrone Barishaki awamu n’omulamuzi Steven Kavuma beebakulembeddemu okuwulira omusango guno.