Ssaabalamuzi Bart Katureebe wakusigala nga afuna omusaala obulamu bwe bwonna

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yataddeko omukono ku bbago lya Administration of the Judiciary Bill 2020 nerifuuka etteeka nga mu buwayiro obulimu mwemuli aka Ssaabalamuzi awummula okusigala nga afuna omusaala gwegumu nga Ssaabalamuzi abeera amudidde mubigere.
Ku musaala guno kwojja okugatta akasiimo ka bitundu 2.4 ku kikumi okubiseemu omusaala ggwe og’omwaka omulamba okubiseemu emirundi etaano n’emyaka gyamaze nga aweereza.
Ssaabalamuzi Bart Katureebe abadde afuna obukadde abiri mu emitwalo nkaaga buli mwezi wawumulidde, so nga ye omumyuuka we Alfonse Owiny Dollo afuna obukadde kumi namwenda n’ekitundu buli mwezi.
Mu tteeka lyerimu Abalamuzi ba Kkooti ensukkulumu, Kkooti ejjulirwamu, aba kkooti enkulu ne Principal Judge bbo bakusigala nga bafuna ebitundu 80 eby’omusaala gwabwe singa baweza emyaka kwebalina okuwummulira, kasiimo ka bitundu 2.4 ku kikumi okubiseemu omusaala ggwe og’omwaka omulamba okubiseemu emirundi etaano n’emyaka gyamaze nga aweereza, obukuumi okuva mu Gavumenti, emotoka ne ba Ddereeva, obujanjabi bwa mwaka wamu n’ebisale by’ennyumba.
Ba Registrar n’abalamuzi bbo tebalina kufuna bukuumi, motoka, ebisale by’eddwaliro, ne z’ennyumba wadde nga bakusigala nga bafuna omusaala obulamu bwabwe bwonna.

Share.

Leave A Reply