Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Young Mulo naye akwatiddwa

Omuvubuka Ssekyema Patrick aka Young Mulo (atali muyimbi) eyalonkomebwa munne Mugisha John Bosco aka Mukiga nti bwebaali bonna mu katambi nga batuga owa Boda Boda mu zzooni y’e Kakeeka mu Divizoni y’e Lubaga nga 30-June naye yakwatiddwa.
Kigambibwa nti Mukiga ne Young Mulo baddamu okubba nga 2-7-2019 Piki piki gyebajja e Mityana wabula nebalondolwa nebakwatibwa e Makindye era abantu nebakuba Young Mulo nebamutta.
Wabula kigambibwa nti Young Mulo teyafa, Poliisi yajjawo kyebalowooza nti mulambo nebagutwala e Mulago mu ggwanika, wabula abakola mu ggwanika nebakizuula nti yali mulamu nebamuteeka mu ddwaliro afune obujanjabi era Poliisi bweyalaba tewali alondoola mu kadde ako nemuleka eyo afune obujanjabi.
Ono bweyadda engulu kigambibwa nti yatoloka mu ddwaliro naddukira ewaabwe gyebamuzaala e Mpigi gyeyasangiddwa nga yekukumye. Ono okukwatibwa kyadiridde Mukiga okuwaayo ebikwata ku munne, Poliisi neddayo e Mulago ekakase oba nga ddala omulambo gwono gyeguli gyebabategeerezza nti yali mulamu era yatoloka mu ddwaliro.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort