Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 91 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM
News

Munnakibiina kya NUP akubiddwa muzibu lwakuleekanira mu Kkooti

April 16, 2024 · Mubiru Ali

Omu ku Bannakibiina kya National Unity Platform 28 abagaaniddwa okweyimirirwa olunaku olweggulo yawuliddwako ngategeeza nti; “Tetugenda kwegayirira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okutuyimbula kuba tetulina musango. Baagala kututta olwokuba twali tulwanirira Eggwanga lyaffe. Batukwata lwakuba twali tukuuma bululu bwa Robert Kyagulanyi Bobi Wine nti kati babasuubira okwegayirira basobole okutuddiza eddembe lyaffe. Twazza musango ki? Tetujja kuggwamu maanyi.”
Ssentebe wa Kkooti y’Amaggye Brig. Gen. Freeman Robert Mugabe bweyamalirizza okusoma ensala ye ku kusaba kwabwe, omu ku basibe Muhysdin Kakooza yavudde mu mbeera era abasirikale ababadde mu bamukubye mizibu n’oluvanyuma nebamuwalula okumutuusa mu motoka ya Military eyabadde erinze ebweru.