Wesimbewo ngomanyi olina okuwangula oba okuwangulwa – Katikkiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga; Katikkiro awadde abeesimbyewo amagezi, nti bakimanye bwewesimbawo oba ojja kuwangula oba kuwangulwa n’olwekyo beetegekere byonna ebinaavaayo.
Abasabye beewale okwetundako ebyabwe bafune ensimbi zokuwenja obululu, kino kijja kubasuula mu mabanja.
“Abantu bonna tebasobola kuwagira Kibiina kyo, mukoppe enkola ya Bajjajja ffe ey’Ebika. Era ffe mu Buganda tunywerere ku Kabaka waffe. Waliwo okugulirira abalonzi, nkubiriza bannayuganda okubeera obulindaala obutabawuddiisa.”
Bya Nasser Kayanja

