Waliwo gwemmanyi atuula ku Kkooti y’amaggye naye nga yakoma mu S.5-Hon. Achia
Omubaka akiikirira Pian County Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Achia Remigio, avuddeyo nategeeza Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byamateeka nga bwalina mukwano gwe gwamanyi obulungi nga yakoma mu siniaya ya kutaano wabula nga kati yomu ku ba mmemba abatuula ku Kkooti y’aamggye.
Ono yewuunyizza nti bano be bantu abasalira banaabwe emisango. Bino abyogeredde mu nsisinkano n’abakungu okuva mu offiisi ya Director of Public Prosecutions (DPP) bwebabadde balabiseeko eri Akakiiko ka Palamenti okwongera okwekkeneenya ebbago lya UPDF (Amendment) Bill, 2025, eryaleeteddwa mu Palamenti.

