Ab’ebijambiya bazzeemu okutemaatema abantu – Bukomansimbi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ab'ebijambiya abatemaatema abantu bazzeemu okutema abantu mu kiro ekikeesezza olwaleero mu Disitulikiti y'e Bukomansimbi era abantu bana kati z'embuyaga ezikaza engoye. 

Ate n'abatuuze ababadde batasalikako musale bagudde ku muvubuka gwebateeberezza okuba ow'ebijambiya nebamutemaatema olwo nebawera abantu bataano. 

Omwogezi wa Police mu kitundu ekyo,  Lameck Kigozi akakasizza bino era n'ategeeza nti mubatemeddwa mubaddemu ne Ssentebe wa LC eyookubiri era n'ategeeza nti Ssaabaduumizi wa Police ,  General Kale Kayihura agenda kugendayo mu kitundu kino. 

Share.

Leave A Reply