Waliwo abaddukidde mu Kkooti nga bawakanya ekyokuwa Luyilika kkaadi ya Makindye West
Waliwo abagambibwa okubeera abatuuze ba Makindye West 3 okuli; Mukasa Patrick Ssali, Kimera John ne Ndugga Henry abaddukidde mu Kkooti nga bawakanya engeri ekibiina ki National Unity Platform gyekyawaamu Zahara Luyilika kkaadi yokukwatira ekibiina bendera ku kifo ky’Omubaka wa Makindye West.
Zahara avuddeyo bano nabategeeza nti kino tekigenda kumuyigula ttama wakugenda mu maaso nokwewandiisa okuvuganya ku kifo kino.
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026
#ironladyofmakindyewest
#protestvote2026

