Uganda yakubuddamya abagobeddwa mu Amerika
Eggwanga lya Amerika litkuuse ku nzikiriziganya ne Ggwanga lya Honduras ne Uganda okubuddamya abantu bonna abanakwatibwa nga bayingira mu Amerika mu bukyaamu.
Uganda yakirizza okubuddamya Bannansi ba Afirika ne Asia abasaba obubuddamu ku nsalo ya Amerika ne Mexico so nga yo Honduras yakubuddamya abantu abaava mu Nsi ezoogera Olusipaana.
Uganda yasabya nti abantu bebaba bagiwa beebo abatali bazzi bamisango.
#ffemmwemmweffe

