Breaking
News: Okutongoza Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ku St Mark High School e Kayunga. News: Okutongoza Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya kwaleero nga 692026 ku St.Mark High School Busaana Kayunga Bugerere. Okuyingira News: Program Gasimbagane ne Bannamawulire mwebakwatidde Charles Rwomushana olwaleero, ekusubye?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 117 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Kkooti eragidde admin okuzza mmemba ku WhatsApp group gweyaggyako

June 20, 2023 · Mubiru Ali
Omulamuzi weddaala erisooka owa Kkooti y’e Makindye Igga Adiru yalagidde Asinguza Allan Mutemba ngono yemuwawabirwa okuzza Baitwababo Herbert mu WhatsApp group gyemuggyamu mu bwangu emanyiddwa nga Buyanja my roots.
Baitwababo agamba nti nga 16-May-2023 nga mmemba omuwandiise ow’ekibiina ekimanyiddwa nga ‘Buyanja my Roots’ yawandiikira Asinguza ngamusaba alage etteeka erimuwa obuyinza okutambuza emirimu gy’ekibiina ekyo wamu ne alipoota yokubala ebitabo ssaako n’ensaasanya ya ssente ezakuŋŋaanyizibwa okuva mu ba mmemba abawendiisa okuviira ddala mu 2017 lwekyatandikibwawo.
Baitwababo agamba nti Asinguza yatandikawo omukutu gwa WhatsApp ogutaba abantu abava mu Gombolola y’e Buyanja esangibwa mu Disitulikiti y’e Rukungiri ogwatuumibwa ‘Buyanja my Roots’ n’ekigendererwa ekyokuduukirira mu kaseera akokufiirwa, okubaako emirimu gyobwannakyeewa egikolebwa mu kitundu, n’okuduukiria abo ababa bakoseddwa obusandali.
Ono agamba nti oluvannyuma lwakabanga bafuna ekirowoozo ekitandikawo ekibiina era nga buli mmemba yali wakuwaayo emitwalo 3 okwewandiisa era nga obubaka bwonna obukwata ku mirimu gyekibiina kino bwali bwakuyisibwa ku mukutu gwa WhatsApp. Ayongerako nti nga mmemba omuwandiise mu mwezi gwa May yawandiikira Asinguzi ngamusaba alage etteeka erimuwa obuyinza okutambuza emirimu gy’ekibiina ekyo wamu ne alipoota yokubala ebitabo ssaako n’ensaasanya ya ssente ezakuŋŋaanyizibwa okuva mu ba mmemba abawendiisa okuviira ddala mu 2017 lwekyatandikibwawo. Nti Asinguzi okwalibadde okumwanukula yamuggya mu Group kyagamba nti yali alinyirira eddembe lye nga mmemba omuwandiise.
Baitwababo yasabye Kkooti eragire Asinguzi okumuzza mu Group bunnambiro era eyise n’ekiragiro obutaddamu kumuggya mu Group eno.