Tokoowa kuyamba, ebyo ebitono byokola biryewuunyisa ensi – David Lewis Rubongoya

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Ssaabawandiisi wa National Unity Platform – NUP David Lewis Rubongoya; “Enkya yaleero mbadde ngenda Nansana nendaba omusajja mu nkulungo e Bwaise nga yebase mu kasana pereketya kumpi nga ali bwereere, nekinkwatako nnyo. Ngenda e Nansana nenkomawo oluvannyuma lw’essaawa 2 musanzeewo mu kifo kyekimu. Bwetumutuukiridde netumusaba tugende tulye naye ekyemisana, natugamba nti erinnya lye ye Mawanda.
Tugenze naye netumugulira engye, nebamusalako enviiri n’oluvannyuma netulya naye ekyemisana. Tumututte mu Ddwaliro netumulekera abasawo nga bamujanjaba. Tujja kwongera okumukeberako nga bwetusaba Mukama katonda amuwonye era omukyuuse abeere omuntu owomugaso mu Ggwanga. Nga Desmond Tutu bweyatusomesa; “Kola ekyo ekitono ekirungi kyosobola, ebyo ebitono byebinagattibwa awamu bijja kwewuunyisa ensi.”
Share.

Leave A Reply