Tewali wa NUP awambibwa bakwatibwa mu mateeka – Rusoke
Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nga bwewatali muntu yenna awambibwa mu Ggwanga nti wabula abantu abakwatibwa bamenyi bamateeka era bakwatibwa mu mateeka. Ono agamba nti bakakwata Bannakibiina kya National Unity Platform 10 nga ku bano 9 basimbiddwa mu Kkooti nebavunaanibwa era nga bano bavunaanibwa musango kukola dduyiro wa kinnamaggye.
Bya Kamali James
#ffemmwemmweffe

