Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 327 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

Benedicto Kiwanuka yali ayagala nnyo Eggwanga lye – Minisita Nabakooba

September 23, 2023 · Mubiru Ali
Archbishop wa Kampala His Grace Paul Ssemogerere asabye wabeewo emirembe wamu n’obwenkanya naddala ng’abantu bakola emirimu gyabwe bwebaba baagala okuleka omukululo ngyeyali Ssaabalamuzi Benedicto Kiwanuka.
Bino yabyogeredde mu misa eyategekeddwa e Rubaga, okwabadde abakungu ba Gavumenti abenjawulo. Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba yatenderezza nnyo Benedicto Kiwanuka nategeeza nti ono yali mwoyo gwa Ggwanga era nga akiririza mu nfuga eyamateeka n’eddembe lyabuli omu.