Tekyali akirizibwa kugula tiketi zamupiira zisukka 3 – CHAN
Oluvannyuma lwa Uganda Cranes okwesogga omutendera gwa Quater mu kikopo kya #CHAN2024, ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere ku lukalu lwa Afirika ekya Confederation of African Football – CAF kikendeezezza ku muwendo gwa tiketi ogulina okugulibwa omuntu omu ku mutimbagano nga kati osobola kugula tiketi 3 zokka.
Dennis Mugimba omwogezi wa Minisitule y’Ebyenjigiriza n’ebyemizannyo wamu n’Akakiiko akategesi ke mpaka za CHAN Dennis Mugimba, agamba nti kino koleddwa okumalawo obufere wamu n’abantu abagula tiketi mu bungi oluvannyuma nebaziguza abantu ku bbeeyi.

