Stecia Mayanja yegasse ku Kream Production

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Oluvanyuma lwa Stecia Mayanja okwekyawa n’ava Golden bandi wiiki ewedde, asazeewo kwegatta ku kibiina kya Kream Production ekya Hajji Haruna Mubiru Kitooke.
Stecia yeegasse ku bayimbi Charles Ssekyewa (naye abadde mu Golden) ne Fred Sseremba abazzeeyo mu Kream Production gye baava nga bemulugunya ku ngabana ya ssente.
Ye Kazibwe Kapo omu ku bakulembeze mu Kream ng’ayogera ku nsonga ya Stecia agambye nti kino kyongedde Kream amaanyi kubanga Stecia muyimbi wamaanyi era alina obuwagizi.
Agasseko nti Stecia okwegatta ku Kream tekyewuunyisa avudde wa kojja (Mesach Ssemakula eyamuleeta mu myuziki) agenze wa mutabani (Haruna ayita Mesach kojja)

Share.

Leave A Reply