Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,515 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Amagombolola 5 gafunye amazzi ga nayikondo – Mityana

April 12, 2018 · Mubiru Ali

Gavumenti eriko amazzi ga nayikondo g’ewadde amagombolola ataano (5)  mu Disitulikiti  y’e Mityana nga omu ku kaweefube w’okulaba nga ebbula ly’amazzi ligenda likendeezebwa mu Disitulikiti  y’e Mityana.

Bw’abadde akwasa abatuuze boomu magombolola okuli Maanyi Butayunja, Kakindu, Bulera, Kalangaalo nayikondo zino, omubaka wa Pulezidenti atuula e Mityana Captain Yahaha Kakooza agambye nti ekisinze okuleeta ebbula ly’amazzi okubuutikira ebitundu by’eggwanga ebitali bimu be bantu okukkira emiti n’entobazzi okubisaanyaawo nga kino kiviiriddeko ebitundu okukala.

 Ono agasseeko nti waliwo abantu abamu nga eby’okukuuma obutonde bw’ensi babitwala mu ngeri ya lusaago nga n’abamu kyenkana omwenge gubasingira amazzi.