Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,234 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

ssewanyana teyaleeteddwa mu kkooti

February 20, 2019 · Mubiru Ali

Omubaka wa Makindye West Allan Ssewannyana teyaleeteddwa mu kkooti e Makindye gyeyabadde asuubirwa olunaku lw’eggulo ku misango egyekuusa kukuba olukungaana olumenya amateeka n’okukuma mu bantu omuliro Poliisi gyemuvunaana. Ono yakwatiddwa Poliisi olunaku lwa Monday bweyabadde agenze n’olujegere okuggalawo eddwaliro ly’e Kiruddu lyagamba nti liri mu mbeera mbi.
Ssewannyana ekiro kyonna yakimaze mu kaduukula ka Poliisi e Naggalama gyeyabadde asuubirwa okugibwa okutwalibwa mu kkooti.
Bannabyabufuzi okwabadde ne meeya we Makindye Ali Mulyannyama baalaze obwennyamivu olw’eddembe ly’omuntu waabwe okulinnyirirwa.