Omuyimbi Big Eye StarBoss naye avuddeyo nalumba muyimbi munne Ronald Mayinja olw’okuyimba oluyimba Bizeemu mu maaso ga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku Serena mu kivvulu kya Catherine Kusasira Sserugga; “Kitange RONALD MAYINJA nkusaamu ekitiibwa, wabula temuddayo kubuzaabuza bantu. Mwe mumaze okwekolako muteredde kati mulaba naffe ba musaayi muto akaseera katuusetwekoleko tutereere ate mutandise okutubuzaabuza nga mututiisatiisa nti #Bizeemu. Kale bwebiba bizeemu nebyasooka yabiggyawo, nabino ajja kulwana era addemu nabyo abimalewo.
“Sso bambi mutuleeko wansi”

Menu