Ssaabalamuzi wa Yuganda atuuse ku Kkooti e Kololo

Ssaabalamuzi wa Yuganda Bart Magunda Katureebe atuuse ku kkooti ensukulu e Kololo awagenda okusalirwa okujjulira okwakolebwa ku nsala ya Kkooti ya Ssemateeka eyatuula e Mbale kunnoongosereza ezakolebwa mu Ssemateeka ku myaka omukulembeze w’eggwanga kwalina okukoma okwesimbawo.

Okusala omusango guno kuzze nga wakayita kumpi omwezi mulamba kubbanga lya myezi ebiri eririna okutwalibwa okuwa ensala.

Okujjulira kuno kuwakanya okugibwawo kwa kawayiro ku myaka 75 omukulembeze w’eggwanga gyalina okukoma okwesimbawo nga kino kiba kiremesa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okwesimbawo mu 2021 singa Kkooti egamba nti enoongosereza eno yakolebwa mu bukyaamu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Uganda to recieve shs 555bn grant for secondary schools.