Ssewanyana ne Ssegiriinya balina emisango emirala – Brig. Byekwaso

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi w’Eggye lya Uganda People’s Defence Forces – UPDF, Brig. Flavia Byekwaso yavuddeyo nategeeza nti okukwatibwa kw’Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform Allan Ssewanyana kwakoleddwa bitongole byabyakwerinda kubigambibwa nti ono ne Mubaka munne Ssegiriinya Muhammad akyali mu kkomera e Kigo balina emisango emirala gyebalina okuvunaanibwa.
Ku kyokuwamba Brig. Byekwaso agamba nti tebanamuwabako wabula kyebakoze kiyitibwa kukwata kuba ono Mubaka nti era yatwaliddwa Kireka gyakuumirwa nti era abantu basigale nga bakakkamu tebasaanye kweralikirira.
Share.

Leave A Reply