Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 255 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Poliisi etaasizza omwana eyabadde awambiddwa

February 13, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi etaasizza omwana ow’emyaka ebiri n’ekitundu eyabadde awambiddwa okuva e Bushenyi. Omusango gw’okuwamba omwana gwawabibwa ku Poliisi y’e Kizinda nga 11/02/2019 ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo.

Atuhaire Claire 33 nga mutuuze w’e Ishaka mu Ishaka – Bushenyi Munisipalite nga ono ye maama w’omwana Mukiza Isaac eyawambibwa mu katale k’e Kizinda. Abawamba omwana batandika okusaba ssente obukadde 5 era nga Maama w’omwana y’abadde yakabaweerezaako emitwalo 358 bwetyo Poliisi nekozesa akakisa kano okutandika okubanoonya era abawambi nebakwatibwa nga bekwese mu Kyarusowe Guest House mu Nnyendo e Masaka n’omwana.

Omu kubawambi kuliko Frank Tumwebaze wamu n’omulala atanategerekeka linnya.