Ssewanyana atongozza Akakiiko akagenda okuwenja akalulu mu Makindye West
Omubaka wa Makindye West Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Allan Ssewanyana yatongozza olukiiko lwe olwokuntikko mu kawefube gw’aliko ow’okunyweeza emirandira gye mu Makindye West.
Olukiiko luno Kuliko abakulembeze abasukka 500 okuva mu miruka egyetoloola Makindye WEST era lukulirwa Shafik Lubega nga Ssentebe. Bano beebazizza Hon. Ssewanyana olw’obwesimbu, obuvumu n’amazima byayolesezza ebbanga lyonna.

