Breaking
News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo wano e Bukoto ku Simba.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 166 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Wabaluseewo obutakkaanya wakati mu Bakulembeze ba National Resistance…

January 5, 2026 · Radio Simba

Wabaluseewo obutakkaanya wakati mu Bakulembeze ba National Resistance Movement – NRM mu Kibuga Masaka nga berumiriza okulya ensimbi.
Olutalo luli wakati wa Ssentebe wa NRM mu Kibuga Masaka, Rogers Bulegeya nakwatidde ekibiina bendera ku kifo ky’Omubaka omukyala Justine Nameere, alumiriza nti ssente ezaali ezokukunga abantu okugenda mu lukugaana lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni lweyakuba mu Masaka emitwalo 36 ezaali ezobukiiko bwebyalo n’emiruka tezatuuka ku bantu abaali balina okuzifuna.
Nameere alumiriza Ssentebe Bulegeya okubulankanya ssente zino wabula Bulegeya bino abyegaana.
#ffemmwemmweffe
#ugandaelections2026
#UgandaDecides2026
#ProtectingTheGains
Photo Credit: URN

Radio Simba News