Ssaabasajja Kabaka asiimiddwa ekitongole kya UNAIDS

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ye munyenyeso yokulwanyisa obulwadde bwamukenenya yassisinkanye Mukyala Winnie Byamyima akulira ekitongole kya UNAIDS nga omugenyiwe ow’enjawulo nga akukuza emyaka gye 67.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiimye n’asisinkanamu Ssenkulu w’ekibiina ky’amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya (UNAIDS), Mukyala Winnie Byanyima, mu Lubiri e Mengo olunaku lw’eggulo.

Bayogedde ku nsonga eziwerako omuli kaweefube ow’okwongera amaanyi mu kulwanyisa obulwadde bwa mukenenya. Ku lwa UNAIDS,  Muky. Byanyima yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olwa kaweefube gw’atadde mu kulwanyisa mukenenya.  Mu ngeri yeemu ekibiina ky’amawanga amagatte ekitakabanira okulwanyisa Mukenenya, kiwadde Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II engule emusiima olwa kaweefube gwatadde mu kulwanyisa mukenenya.

Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka egyomulundi guno gitambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Abasajja Tubeere Basaale mu Kulwanyisa Mukenenya, Tutaase Omwana ow’Obuwala”.

 

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply