Principle State Attorney asimbiddwa mu kkooti

Principle State Attorney mu ofiisi ya Attorney General Elisha Bafiirawala asomeddwa emisango mu Kkooti erwanyisa obukenuzi n’obuli bwenguzi olw’okufiiriza gavumenti obukadde 37 bweyalagira busasulwe kkampuni ya banamateeka olw’emirimu gyeyali ekoze songa tewali mulimu nagumu gweyakola.

Bafiirawala alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Peter Lochamini neyegaana emisango gy’okukozesa obubi ofiisi ye wamu n’okufiiriza gavumenti ensimbi.

Oludda oluwabi lugambye nti mu August 2012 bweyali akola nga State Attorney nga akiikirira gavumenti mu musango ogwawabibwa Babcon Uganda Ltd, Bafiirawala yalagira basasule aba Ssebanja, Malende and company advocates so nga baali tebalina kyebakoze.

Ono avunaaniddea wamu ne munamateeka Abubakar Ssebanja omu ku banamateeka ba Ssebanja, Malende advocates nga ono avunaaniddwa ogw’okubba 37 wamu n’okwogala okubba obukadde obulala 19 okuva mu gavumenti.

Bano bombi bateereddwa kukakalu ka kkooti akoboliwo ka kakadde kamu, okuwaayo ppaasipoti zaabwe mu kkooti wamu nababeyimiridde okubadde Omubuka omukyala akiikirira Bukedea Anita Amongo, banamateeka John Isabirye ne Kituuma Magara era nga bano bawaddeyo obukadde kumi nabubiri n’ekitundu obutali bwabuliwo.

Balagiddwa okudda nga 18 June.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Abasiraamu basabiddwa okugaba