Sipiika wa Nakawa Luyombya ayanjulidde ab’e Nakawa byabakoledde
Munnakibiina kya National Unity Platform nga ye Sipiika wa Nakawa Luyombya Godfrey olunaku lweggulo yayanjulidde abantu abamulonda ebintu byakoze mu kisanja kye omuli; okuzimba enzizi, okuyambako abaana okusoma, okuyambako Abantu okufuna capital okwetandikirawo emirimu, ayambye abantu abaliko obulemu bangi nyo okufuna byebataaga, okutegeka empaka ezenjawulo abantu mwebawangulira ebirabo, okutumbula ssaako nokwagazisa ekibiina kye ki NUP eri abantu, okukwatirako emizikiti n’amakanisa, okukwasizaako amasomero nebirara bingi nyo nga wano wasinzidde okusaba abe Nakawa okumwesigisa bamukwase entebe y’obwa Mayor wa Nakawa.

