Sipiika mwennyamivu ku ngeri abantu gyebattibwamu

Sipiika wa Disitulikiti  y’e Mukono Emmanuel Mbonye mwennyamivu ku ngeri abantu gye battibwamu nga bawambibwa.

Mbonye agamba nti ebintu bino eby’okuwamba  abantu babijja mu mawanga ge Bulaaya nga bayita mu kulaba Ffirimu z’ayogeddeko nti zikoze kinene okwonoona ensi Yuganda.

Ono okwogera bino asinzidde ku muwala ow’emyaka 23  Nakabuto Felsita eyawambibwa ku Lwokutaano abasajja abataategeerekeka abaali batambulira mu mmotoka nga baamuggya okuliraana awaka waabwe e Kyabazala ekisangibwa mu ggombolola y’e Ntunda mu Disitulikiti

Agamba nti ebikolwa ebyo bivudde ku bwavu obukudde ejjembe mu bantu era n’asaba Gavumenti eteeke nnyo essira ku kulaba nti bannansi bayingiza ssente basobole okutumbula embeera zaabwe.

Mbonye asinzidde mu mboozi ey’akafubo ne Radio Simba n’asaba abantu bonna okwekuuma bave mu bino ebya Gavumenti etuyambe nti kubanga olaba bawamba mwana wamuserikale ate leero ggwe ataliiko bukuumi.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Abalunzi b’ebyennyanja babalese mu miranga e Mayuge