Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 620 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Kadaga akaayuukidde ababaka abangoola Pulezidenti

June 21, 2017 · Mubiru Ali

Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga atiisatiisizza okubonereza ababaka bonna abangoola omukulembeze w’eggwanga bw’aba azze okwogerako eri Palamenti.

Kadaga agamba nti wadde waliwo ababaka abamu mu Palamenti ababa tebakkaanyizza na nsonga za mukukembeze baba balina okumuwa obudde abe nga annyonnyola ensonga ze.

Agamba nti okusinziira ku mateeka agafuga Palamenti,  omukulembeze buli lwajja okwogerako eri Palamenti  balina okumuwuliriza n’obwegendereza.

Kadaga ayongeddeko nti ne gyebuvuddeko waaliwo obusiiwuufu bw’empisa obwakolebwa ababaka mu Palamenti bwebaali mu kuwenja akalulu k’ababaka abanaakika mu Palamenti etaba amawanga agali mu buvanjuba bwa Africa. Agamba ebintu nga bino biba bityoboola ekitiibwa kya Palamenti .