Omukubi w’ebikonde Munnayuganda Mustafa katende afudde

Mustafa Katende omukubi w’ebikonde agudde bwabadde mu kutendekebwa olunaku lwaleero mu Gym ya Poliisi Training School e Kibuli. Omutendesi wa wa Police Boxing Club Dan Kasole akakasiza okufa kwa Mustafa.

Kigambibwa nti Mustafa abadde mugonvugonvu era nga bwazze okutendekebwa banne nebamugamba addeyo anadda enkya wabula nagamba kakoleyo rounds 3 zokka, wabula ku round ey’okubiri alemereddwa bwatyo naggwa nakuba omugongo ku sseminti bwebatyo nebamuddusa mu ddwaliro e Nsambya nga bamuwujja nakutuka. Omusawo agamba nti ono yandiba nga abadde n’ekirwadde ky’omutima.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
omuliro gukutte ekkolero ly’emifaliso e kyambogo