Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 300 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

Poliisi ekutte ababba obutaala bw’emotoka mu Kampala

September 23, 2023 · Mubiru Ali
Uganda Police Force ku CPS mu Kampala olunaku lweggulo yayanukudde okwemulugunya kw’abantu ku Social Media ku bubbi bw’ebintu ku motoka wakati mu Kampala. Poliisi yakoze ekikwekweto mweyakwatidde abagambibwa okwenyigira mu kubba side mirror z’emotoka n’ebintu ebirala ku motoka.
Waliwo abakwatiddwa lubona nga babba ebintu ku motoka ezitambula wamu neezo eziteereddwa mu Parking ezateekebwawo Kampala Capital City Authority – KCCA era bano kuliko; Muhammed Ramathan, Kabalega Deus, Emron Lawrence ne Kazungu Enoch.
Poliisi yasobodde okzuula ebintu ebiwerako ebyabbibwa ku motoka okuva mu bantu bano abakwatiddwa. Bano bwebakunyiziddwa bano batutte Poliisi ewa Kisekka ku maduuka agatunda ebintu ebyo ebbibwa. Poliisi yayongedde okukwata abantu abalala okuli; Mugabi Shakur, Lukwago Abdulkarim, Kabambwe Mark, Nyanzi Fred ne Wandera Fred.
Bano bonna bakuumirwa ku CPS mu Kampala nga bwebalindirira okutwalibwa mu Kkooti okuvunaanibwa.