Sheik Ngobi asabye okwetondera aba Famire beyalebula
Deputy District Kadhi wa Disitulikiti y’e Luuka era Country Director of Albayan Sheikh Uthman Shaban Ngobi yetondedde Namwandu ne Bamulekwa beyavaayo nalumiriza nti batta Kitaabwe Hajji Ahmed Salamin ow’e Jinja.
Ono asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira lwakusaasanya bigambo bisiga obukyaayi. Ngobi bwagasimbaganye n’Omulamuzi Ronald Kayizzi okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa asabye Kkooti emuwe omukisa abetondere olwokukola obutambi ku TikTok zagamba nti zalimu obulimba.
Ngobi ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 obwobuliwo naweebwa amagezi akozesa akaseera kano okutuula n’Abafamire beyasobya batuuke kukukiriziganya nga 8 July terunatuuka.
Okukiriziganya kuno wakati wa Ngobi nabafimire gyeyalebula kukulembeddwamu Mufti wa Uganda ne Bamaseeka abalala okuva e Busoga.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe

