Breaking
News: Eggwanga lya Senegal kyaddaaki likakasiddwa nga linantameggwa lya Africa Cup of Nations AFCON 2025 oluvannyuma lwokuwangula okujjulira News: Olutindo-Kibazo-URA engeri gyegabamu emirimu yewuunyisa! Abasuubuzi kasita babawuddemu kiba kiwedde News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya tinta tinta ku abiri mu ettaano fayinolo esembedde nga 6122026 ku Summer Gardens Mukono.
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 144 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Mubeere nemitima egirumirirwa abalala – Katikkiro

May 6, 2025 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde ebikolwa eby’okunyigiriza abalala era akubirizza abantu okubeera ne Katonda mu mwoyo ne mu bikolwa so si mu bigambo.
Owek. Mayiga alaze obwenyamivu olw’ekiwamba bantu ekigenda mu maaso mu ggwanga n’asaba abakola bino okwekomako era babeere n’emitima egirumirirwa abalala.
Bino abyogedde yetabye mu kukuza olunaku lw’ekifo ky’ekigo ky’e Lweza ng’eno ebijaguzo bitambuliziddwa ku okwefumiitiriza ku mutuukirivu Yozefu. Owek. Mayiga wano wansizidde n’asaba abo abakola ebikosa abalala okutwala eky’okulabirako ku Yozefu eyali omukakkamu, omwetowaze era omukozi.
Ye Omusumba omukulu ow’Essaza lya Kasana Luweero Bp. Lawrence Mukasa abadde omutambizi omukulu, ajjukiza Abakristu obukulu bw’okwagalana n’okusonyiwagana, nga bino bwe banaabitambulirako Ensi ejja kwongera okubukalamu emirembe.
#ffemmwemmweffe