Pulezidenti Museveni agamba nti abatta Joan Kagezi babamanyi

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agamba nti bamanyi bulungi abantu abatta eyali omuwaabi wa Gavumenti Joan Kagezi wabula nga kikyali kizibu okubawozesa kubanga tebali mu Yuganda. Museveni yabadde mu Kampala mu musomo gw’okujjukira Kagezi eyakubwa amasasi agamuttirawo e Kiwatule okumpi n’e Kampala nga kati emyaka giweze musanvu nga mpaawo avunaanibwa.
Pulezidenti Museveni aliko n’ensako gyeyasuubizza abawaabi ba Gavumenti gy’asuubira nti eneeyamba okulongoosa ku mbeera mwe bakolera.
Share.

Leave A Reply