Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 241 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM
News

Minisita Nandutu atwaliddwa ku Poliisi ya Kira Division

April 18, 2023 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force CP Polly Namaye avuddeyo nategeeza nga Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Agnes Nandutu bwagiddwako sitaatimenti oluvannyuma lwekwetwala ku Poliisi ku misango eginoonyerezebwako okuli; ogwokukozesa obubi offiisi ye wamu n’okubba amabaati agaali ag’abantu abayinike e Karamoja.
Namaye agamba nti Nandutu yaweereddwa bambega ba Poliisi okumuggyako sitaatimenti e Kibuli oluvannyuma natwalibwa ku Poliisi ya Kira Division gyakuumirwa kati.
Fayiro ye esindikiddwa ewa DPP okuwabula wamu n’okusalawo emisango egyokumuggulwako. Namaye yebazizza Minisita Nandutu olwobutonoona budde bwa Poliisi neyewaayo mu bwangu.