Poliisi y’e Kyengera ekutte 4 kuby’ettemu

Abantu 4 bakwatiddwa kubiteberezebwa okuba nti benyigidde mu kutta omukazi ow’emyaka 70 e Kyengera. Bano kigambibwa nti bandiba nga benyigidde mu butemu bwa Ms Tereza Ziribaggwa abadde omutuuze w’e Mugongo A Kyengera Town Council mu Wakiso District nga ono Maama wa Denis Batte referee wa FUFA.

Omulambo gwono gwasangiddwa wabweru w’ennyumba ye ku Monday ku makya nga gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi nga guliko ebiwundu ebiwerako. Poliisi yasanga ebizibiti ebiwerako okwali n’omusaayi nga ku bino kwaliko ejjambiya. Abakwatiddwa kuliko Paul Mayanja 35, Denis Luburwa 40, Charles Nsubuga 47 ne Dinah Tino 32.

Mukukwatibwa Tino yasangiddwa ayambadde engoye eziriko omusaayi ekyaleetedde abasirikale okwaza ennyumba ye omwasangiddwa ebintu ebiwerako omuli ensawo, akabokiso mwebateleka ssente nga mulimu 60,000/=, omufaliso, case y’engoye ebyazuuliddwa nti byali bya mugenzi. Yo ewa Mayanja Poliisi esanzeeyo amasuuka agaliko omusaayi.

Kigambibwa nti omu ku bakwatiddwa nga ye Tino abadde mukwano gw’omugenzi era nga yandiba nga yennyigidde mukumutta n’ekigendererwa ky’okumubba.

Bano bonna bakuumirwa ku Poliisi e Kyengera.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Abakulembeze b’e Oyam basabidde Pulezidenti Museveni