Police eyise ebiwayi by’abavuzi ba Bodaboda ebirwanagana

Police mu Kampala olwaleero  etandise okwogereganya n’ebiwayi by’abagoba ba Bodaboda abatalima kambugu nga buli kiwayi kigamba nti kyekinnannyini buyinza. 

Ku Lwomukaaga lwa ssabbiiti ewedde waaliwo okulwanagana wakati w’ekiwayi kya Century Bodaboda awamu  ne Bodaboda 2010 e Wakaliga  – Nateete mu Kampala era okukkakkana nga beetuusizzaako ebisago  awamu n’okwonoona Pikipiki.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kya Police e Naggulu,  Omwogezi wa Police mu ggwanga,  Asan Kasingye avumiridde eky’okulwanagana era n’ategeeza nga bwebayise ebiwayi bino byombi bamalewo endooliito.

Asan Kasingye agamba nti abantu bana bamaze okugombebwamu obwala agiyambeko mu kunoonyereza

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

69 4 instagram icon