Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 252 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Tetugenda kukkiriza bamusiga nsimbi baavu – Minisita Anite

June 17, 2016 · Mubiru Ali

Minisita avunaanyizibwa ku kwetundako amakampuni ga Gavumenti agatakola magoba wamu ne bamusiga nsimbi Everyn Anite yeerayiridde okulwanirira abantu okufuna emirimu era n’akakasa nga bw’atagenda kukkiriza bamusiga nsimbi baavu mu ggwanga.

Okwogera bino yabadde amaze okukakasibwa akakiiko ka Palamenti akasunsula abo abalondedddwa Pulezidenti mu bifo by’obwa Minisita.

Anite abadde Minisita w’abavubuka n’abaana mu kisanja ekiwedde nga kati yasikiddwa Nakiwala Kiyingi ate ye n’azzibwa ku kuvunaanyizibwa ku kwetundako amakampuni ga Gavumenti agatakola magoba ne bamusiga nsimbi.