Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Wolokoso ▶ UP NEXT Gasimbagane 10:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 1,995 listening Simba FM Live
wolokoso show photo

On Air

Wolokoso

Sula Nsiri - Kalebule

9:00 AM - 10:00 AM 9:00 AM - 10:00 AM

Poliisi y’e Kanyanya ekutte Taata omuto lwakuwamba mwana wa mwaka gumu

June 15, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Kanyanya Brain Lukwago lwakuwamba Vemavarapu Bricklie ow’omwaka ogumu nga olukwe luno yalutandika week bbiri eziyise nga ali wamu ne Henry Kato abadde akola nga Ddereeva wawaka.

Omwana ono yawambiddwa mu Wampamba Zone e Kanyanya e Kawempe nga wamu n’omukozi wa waka Jamila Nangoobi.

Mukunoonyereza okwakoleddwa kyazuuliddwa nti olukwe luno lwabaddemu Jjaja w’omwana, Taata we omuto, wamu n’abenganda abalala mukaaga. Abawamba omwana bakubira Maama we essimu nga bamusaba obukadde 50 nga bakolera wamu ne Taata we omuto Lukwago eyagenda mu maka mwebawambye omwana nabateeka ku nninga baweereze ssente zebabasabye.

Bwebakizudde nti Poliisi ebanoonyeza ku ssiimu kwekusuula Omukozi n’omwana e Bweyogerere nebabawa enkumi ttaano zibaze ewaka.

Bano bakuumirwa ku Poliisi ye kawempe.