Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,396 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Kadaga avuddeyo mu misolo egibinikibwa amatendekero g’obwannannyini

December 15, 2017 · Mubiru Ali

Sipiika wa Palamenti  Rebecca Alitwala  Kadaga asuubizza okugoberera ku ky'emisolo egibinikibwa amatendekero ag'obwannannyini. 

Kadaga okwogera bino kiddiridde  nannyini ttendekero erya St. Elizabeth Institute of Health Professionals Mukono Dr. Paul Ssebaggala okumulaajanira nga emisoso gy'emisolo egiyitiridde bwegibatuuse mu bulago ekiyinza okubaviirako okukola obubi so nga ate bayamba ku Gavumenti okugiweereza abakozi abalungi.

Kadaga mu kwanukula asuubizza nga bw'agenda okugenda mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku misolo mu akole okunoonyereza kubanga ekintu kino baakyogerako dda mu Palamenti.

Bino Kadaga abyogede bw'abadde atikkira abayizi abaweredde ddala 465 nga bano bonna bakuguse mu busawo.