Kyagulanyi asabye Kkooti emwogereyo akadde aleete obujulizi obulala

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Munnamateeka w’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda (EC) Joseph Matsiko ne Attorney General (AG) William Byaruhanga bakiriziganyizza ne Munnamateeka wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Kiryowa Kiwanuka, nti okusaba kwa Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine nti Kkooti emwongereyo akadde asobola okuleeta obujulizi obulula 200 mu kwemulugunya kwe nti byonna tebirina makulu bakirize okuwulira omusango kutandike.
Bagamba nti okwemulugunya kwe kwesigamiziddwa ku ngambo ezitalina mitwe namagulu nti era Bannamateeka ba Kyagulanyi abakulembeddwa Medard Lubega Sseggona bagenda kusanga obuzibu bungi nnyo okumatiza Kkooti Ensukulu okukiriza okusaba kwabwe. Kkooti egenda kuwa ensala yaayo ku kusaba kuno kussaawa kumi n’ekitundu.
Share.

Leave A Reply