Poliisi ya Kira Road ekutte abadde abba emotoka

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi ya Kira Road bweyakutte Muwanga Edward omutuuze w’e Kyengera Town Council ku bigambibwa nti yabbye emotoka ekika kya Toyota Noah nnamba UAU 672 U okuva ku Kampala Parents Stretch.
Bino byabaddewo olunaku lw’eggulo mu ttuntu Muwanga bweyagudde emotoka nga akozesa master key nasimbula emotoka abulewo, wabula nannyini motoka yakubye enduulu era nebatandika okumugoba. Bamukutte nebatandika okumukuba wabula nataasibwa Poliisi ennawunyi. Bwebamukebedde bamusanze n’ebisumuluzo eby’enjawulo.
Share.

Leave A Reply