Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi mu Disitulikiti ekutte abakuba omukadde

Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Bushenyi evuddeyo netegeeza nti erina abantu babiri mu mikono gyayo nga kigambibwa bano bebamu ku kibinja ky’abantu abalabikira mu katambi nga bakuba omukadde emiggo egibula okumwosa omuliro. Wabula Poliisi egamba nti omuntu ow’okusatu alabikira mu katambi nga akuba omukadde amanyiddwa nga Keith anoonyezebwa.
Poliisi egamba nti nga 1-3-2020 ku ssaawa nga kumi nabbiri n’ekitundu mu Kyakebizi Cell, Central Division mu Ishaka – Bushenyi Municipality mu Disitulikiti y’e Bushenyi, omukyala eyategeerekese nga Maria Kyomugisha 66, yasangibwa nakawanga k’ekinnyonyi mu lusuku lwa Lukia Atwongeire nebakwata nebatandika okumukuba nga bwebakwata akatambi.
Oluvannyuma yatwalibwa ku Poliisi y’e Bushenyi naggulwako omusango gwa ‘Criminal Tresspass’. Akawanga k’ekinnyonyi wamu n’ebyawongo ebirala byonna bikuumirwa ku Poliisi nga ebizibiti. Wabula omukadde yateebwa ku kakalu ka Poliisi nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort