Poliisi ekutte abasirikale baayo 6 lwa bubbi

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi wa Uganda Police Force ow’ettuntundu lya Elgon Rogers Taitika avuddeyo nakakasa okukwatibwa kw’abasirikale ba Poliisi 6 nga bano kigambibwa nti babadde benyigira mu bubbi. Abakwatiddwa kuliko; D/ASP Gerald Sabiiti No.51086, PC Anthony Wanjala No.64627, D/C Jamada Wangiri No.68822, PPC Kamada Katende No.69001, PPC Fauhara Namwoyo No.55238 ne C/DR Wycliffe Chepkwech, nga bonna ba Sironko Central Police station.
Bano kigambibwa nti babbye ku ddereeva obukadde 10 obw’ensimbi enkalu wamu ne kkatoni z’eŋŋano 122 ezibalirwamu obukadde musanvu n’ekitundu.
Ronald Sikoria 30, ddereeva era omutuuze wo ku kyalo Chepryayi muKwanyi sub-county mu Disitulikiti y’e Kween bamubbira e Nakiwondwe cell, Budadiri Town councilmu Disitulikiti y’e Sironko nga 19 November, 2021.
Kigambibwa nti bano bateeka Sikoria ku mudumu gw’emmundu, era bwebamukebera mu nsawo nebasangamu obukadde 10 era nebamuwaliriza n’okubalekera ebintu byeyali alina.
Share.

Leave A Reply