Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 385 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Poliisi ekutte abasajja 2 abagambibwa okubba emotoka mu Kampala

February 19, 2021 · Mubiru Ali
Omwogezi wa ekitongole ekinoonyereza ku misango mu Uganda Police Force ekya CID ASP Twiine Charles avuddeyo nategeeza nga bwebakutte abasajja babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw’emotoka mu Kampala n’emiriraano.
Abakwatiddwa kuliko: Nsereko Farouk Alias Kasasa Hassan ne Wambi Joseph Alias Kato Daniel.
Okunoonyereza kulaga nti bano babadde bapangisa emotoka okuva ku bantu nebazitunda olwo abazigula nebabakwata nti bazibba.
Kigambibwa nti bano benyigidde mu bubbi bwemotoka eziwerako era nga banoonyerezebwako. Tusaba Bannayuganda naddala abagula emotoka ku bantu bano oluvannyuma nezikwatibwa Poliisi okugenda ku kitebe kya CID baggulewo emisango nga abakwate tebanatwalibwa mu Kkooti.