Poliisi y’ebidduka efulumizza entambula y’ebidduka e Namugongo
31 — 05Abadde avuganya Kagame bamutidde e South Africa
1 — 06Omulamuzi w’eddaala erisooka mu Kkooti e Masaka Christopher Tindyebwa Adyeri asindise abayizi 4 ab’essomero lya St. Bernard’s Secondary School, Mannya mu Disitulikiti y’e Rakai mu kkooti enkulu batandike okuwerenamba n’emisango.
Bano bebalowoozebwa okuba nga bateekera ekisulo ky’abayizi omuliro omwafiira abayizi 11 mu mwezi gwa November 2018. Wabula bbo abakuumi abakwatibwa n’abayizi bano bakuvunaanibwa mu Kkooti ento.
Kkooti eyatudde olunaku lw’eggulo yategeezeddwa nti bano bateekera omuliro ogwatta banaabwe 11 abaali basoma S.3 saako n’okwagala okutta abalala ekyaviirako ebintu ebiwerako okwononeka.
Bano bavunaanibwa emisango 51 okuli 10 gyabutemu, 37 gyakugezaako kutta, 2 gyakuteekera muliro, 1 gwakwonoona bintu mubugenderevu, wabula bbo abakuumi bavunaaniddwa gwakulagajjalira mirimu gyabwe.
Omuwaabi wa Gavumenti Victoria Ann Nanteza yategeezezza Kkooti nti bamaze okukola okunoonyereza okumala nebafuna obujulizi obuluma abavunaanibwa.
Yayongeddeko nti bbo abakuumi okuli; Michael Tayebwa ne Steven Nzeyimana bano bbo emisango egibavunaanibwa mitono nnyo nga gisobola okuwulirwa