Breaking
News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 182 listening Simba FM Live

Mufti Mubajje alabudde ababba ettaka ly’obuyisiraamu

September 12, 2016 · Mubiru Ali

Emizikiti wonna mu ggwanga gibooze olwaleero mu kusaala Eid – Al Adha ey’okusala ebisolo mu nnono y’eddiini y’obuyisiraamu mu nsi yonna 

Mu kusaala kuno Mufti wa Uganda Sheikh Ramadhan Mubajje asinzidde ku muziti omukulu e Kampala mukadde n’avumirira wamu n’okulabula abantu abatali bamu ba ssekinnoomu abeekobaana n’abayisiraamu okubba ettaka ly’obusiraamu era muno atwaliddemu ne ba Imam b’emizikiti n’abategeezanti balye kamanye nga akoza n’owebbwa .

Mu kubuulira kwe Mubajje asabye abayisiraamu bonna okwettanira enteekateeka za Gavumenti okusobola okwewonya olukokobe lw’obwavu olufuuse ekyambika . Wano w’abasabidde okwenyigira mu mirimu nga ; Okulima ebibala nga emiyembe, okulunda enkoko wamu n’okuzaaluza, abakayala okwettaniraa okutunga wamu n’emirimu emirala Gavumenti gy’etaddeko omulaka .