Poliisi ekutte abadde abba nnamba z’emotoka

Pinterest LinkedIn Tumblr +
BAMUKUTTE LUBONA; Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nti Poliisi nga ekulembeddwamu OC Station owa Ntinda nga beyambisa obubaka obwesigika bakoze ekikwekweto ku mubbi wa nnamba zamotoka eyategeerekese nti ye Farouk Matovu 25, nga mutembeeyi omutuuze w’e Nakawa.
Matovu yakwatiddwa okuva okuliraana Total e Nakawa oluvannyuma lwokumulondoola okumala akabanga. Bweyakunyiziddwa abasirikale yakirizza nti abadde abba ennamba zamotoka okuva mu bitundu by’e ntinda, Kiwatule, Kulambiro, Naguru n’ebitundu ebirinaanyewo nga abadde akikola mu ssaawa mukaaga ogw’ekiro nalekawo akapapula okuli ennamba ye eyessimu kwebadde asabira ssente okulangirira wa ennamba weeri.
Ono ennamba abadde azikweka mu nnimiro, ku kasasiro oba mu nsiko erinaanye wagibbye. Yatutte Poliisi mu bifo wabadde akweka ennamba zino okuli; Kigoowa, Northern Bypass, Kiwatule ne Kulambiro.
Ennamba ezazuuliddwa kuliko; UBA 670Q, UAT 783Y, UAW 379Y, UAR 859K, UBB 475N, UAR 261K, UAJ 019P, UAH 907Q ne UAR 859K.
Share.

Leave A Reply