Uncle Money bumukeeredde

Uncle Money ali mu bizibu oluvannyuma lw’okukwatibwa naggalirwa ku Poliisi ya Old Kampala kubyekuusa ku kufa kwa Siraje Hakim Tumusiime.
Ssewanyana avunaanibwa okukuba Tumusiime kyamuviirako okufa. Tumusiime nga makanika wa motoka ku Munaku – Lubya yakubwa nafa nga 16-August-2019 nga kigambibwa nti Ssewanyana yali amulanga okumubbako ebintu bye.
Okuzinziira ku Mariam Nazalwe nga ono ye mukyala w’omugenzi wamu ne Beatrice Kabatooro Maama w’omugenzi bagamba nti Ssewanyana yakwata Tumusiime mu bulago namukasuka nga amulango okumubbako ebintu bye.
Nazalwe ne Kabatooro okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango bategeezezza Poliisi Tumusiime yagezaako okunnyonyola Ssewanyana nti si yabbye ebintu bye wabula tebamuwuliriza era abantu abalala mukaaga begatta ku Ssewanyana nebatandika okukuba Tumusiime nga bakozesa buli kimu kyebasanga okwali amayinja, emiggo n’ebyuuma okutuusa lweyafa.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
KCCA installs new surveillance cameras